Abasuubuzi si Bamativu Nebyava mu Nsisinkano ne Museveni, Bandiddamu Okwediima,
- ByAdmin --
- Apr 29, 2024 --
Abasuubuzi okuyita mu kibiina ekibataba mu ggwanga ki KACITA batiisizzatiisizza okuddamu okuteeka wansi ebikola baggalewo amadduuka gabwe singa omukulembeze w'eggwanga Yoweri Kaguta Museveni asuubirwa okubasisinkana ku ntandikwa y’omwezi ogujja alemera ku nkola ya EFRIS ekitongole kya URA gyekyaleeta okulondoola abasuubuzi ababulankanya omusolo. Abasuubuzi bagamba nti essuubi ly'okukola ku nsonga zabwe balina ttono ddala oluvanyuma lw’abakulu mu kitongole ekiwooza ky’omusolo ne minisitule y’ebyensimbi okumatiza omukulembeze w’eggwanga nti enkola ya EFRIS nnungi nnyo era tesaana kukwatibwako.