
Abasuubuzi Baweze Okuddamu Okuggalawo Amaduuka, Baagala Ebisuubizo bya Pulezidenti Bikolebweko
- ByAdmin --
- Apr 23, 2024 --
Abasubuuzi mu kibuga Kampala bawezze okuddamu okuggala amadduuka gabwe singa omukulembeze w’eggwanga analemerwa okugonjoola ebizibu byabwe byebamwanjulira mu nsisinkano gyebabadde nayo ku Lw’okutaano lwa sabbiiti ewedde. Bano bagamba nti omukulembeze w’eggwanga yandiba nga yabasiba akatambaala ku maaso okubasisinkana naye nga mpaawo kigenda ku kyuka mwebyo byebemulugunyaako naddala ku nkola ya EFRIS.