Abasuubuzi Bategese Okukola Ebyenjawulo nga Basisinkanye Omukulembeze w'Eggwanga Enkya
- ByAdmin --
- May 06, 2024 --
Abasubuuzi mu kibuga Kampala bategeezeza nti bagenda kuggalawo amaduuka gaabwe ku Lwokubiri lwa ssabbiiti eno bonna bagende e Kololo mu nsisikano yabwe ne Pulezidenti Museveni mwebamusuubirira okusalawo eky’enkomeredde ku nkola ya Efris ebabobbya omutwe. Bano balabudde bannayuganda nti bakozese olunaku olw’enkya okugula ebintu byebetaaga mu bulamu bwabwe obwabulijjo kubanga Pulezidenti bwatayimiriza nkola eno bagenda kukolawo akatiisa.