
Abasuubuzi Bakedde Kwekalakaasa , Ensonga Z'emisolo Zezibatabudde
- ByAdmin --
- Apr 08, 2024 --
Abasuubuzi abakolera mu bizimbe eby’enjawulo mu Kibuga Kampala bakedde kuggala madduuka gabwe okulaga obutali bumativu eri gavumenti n’ekitongole ekya URA nga bawakanya omusolo omungi ogubabinikibwa ennaku zino . Bano bategeezezza nti sibakuggulawo madduuka singa ensonga zebemulugunyaako tezisooka kukolebwako. Embeera ewalirizza Poliisi okuyiwa basajja baayo wamu n’amagye mu kibuga okutaasa embeera ebadde eyinza okusajjuka.