Abasuubuzi Bakaaba lwa Lutalo lwa Congo , Bagamba Lubafiirizza Ensimbi Zaabwe

Abakulembeze abatwala ebibiina by’abasubuuzi baagala abakulembeze abatwala ensi eziri mu mukago ogwa East African Community okubaako kyebakolawo ekyamangu okukomya olutalo olugenda mu maaso mu kibuga Goma mu ggwanga lya Congo. Abasubuuzi abatwala eby’amaguzi mu ggwanga lya Congo batubuulidde nti tewakyali mmotoka yonna egenda mu ggwanga lino olw’abasuubuzi okutya okutuusibwako obulabe .Mu kiseera kino emmotoka zonna ez’abasubuuzi ezisinga obungi zisimbiddwa era n’abavuzi baazo bagamba tebamanyi kyakuzzaako.


https://www.youtube.com/watch?v=bM4Pe465soc

LEAVE A COMMENT