
Abasuubuzi Baggadde Amadduuka mu Kampala, Bawakanya Okubongeza Ensimbi z’Obupangisa
- ByAdmin --
- Oct 22, 2024 --
Kabadde kaseera kazibu nyo ng’abakuuma ddembe nga bakulembedwamu atwala poliisi mu ki kibuga Kampala eya Mini Price Affande Joseph Muliika bagezaako okukakanya abasuubuzi ababadde bataamye obugo nebaggala amadduuka gaabwe ku kizimbe ki Capital Center olw’omugagga omupya eyaguze ekizimbe kino okubongeza ez’obupangisa, n’okubateekako amateeka amakakali. Abasuubuzi bano batuuse n’okuva mu mbeera nebagezaako okumenya obuyumba omugagga Drake Lubega bwabadde azimbye munda mukizimbe, nga kituuse n’okuwaliriza abakuuma ddembe okuwayinganya ebigambo n’abakulu ba KCCA.