
Abasuubuzi Baanukudde Pulezidenti ku Nsonga y'Ebinyeebwa , Bamusabye Yeekube mu Mutima
- ByAdmin --
- Jan 27, 2025 --
Omukulembeze w’Eggwanga Gen. Yoweri Kaguta Museveni ayagala okuwera abasuubuzi abatunda ebinyeebwa ebikubiddwa mu byuma nga agamba nti bino byebimu kw’ebyo eby’ongedde endwadde ya kkookolo okusaasaanira mu Bannayuganda. Okusinzira ku Pulezidenti Museven kikyamu n’okutunda ebinyeebwa bino nga bisunsuddwa okuggyibwa mu bikuta byabyo n’oluvanyuma n’ebiteekebwa mu kyangaala.