Abasirikale Basabiddwa Okutereka Ensimbi Zibayambeko Okwekulaakulanya
- ByAdmin --
- Mar 28, 2024 --
Ssaabapoliisi w’eggwanga ow’ekiseera Maj. Gen. Godfery Tumusiime Katsigazi asabye abasirikale wonna mu ggwanga okujjumbira okweteerekera kibayambeko okubaako byebeetandikirawo n’okubeera n’obulamu obweyagaza wakati nga baweereza eggwanga. Katsigazi okwogera bino abadde mu Ttabamiruka wa SACCO ya poliisi eya Exodus ow'omulundi 11 ayindidde mu kitebe kya poliisi ekikulu e Naggulu