Abasirikale Abambala Obukookolo Bubakeeredde , Ababaka Bagenda Kubaggulako Emisango
- ByAdmin --
- Jul 25, 2024 --
Abamu ku babaka ba Palamenti abatuula ku kakiiko k’ebyokwerinda batandise ku nteekateeka ezigendereddwamu okuyita Minisita w’ensonga z’ebyokwerinda, Ssaabadduumizi w’amagye n’owa Poliisi balabikeko eri akakiiko kano babeeko bye bannyonnyola. Bano bagamba nti abasirikale abagumbulula abeekalakaasi bayitiridde nnyo okutambulira ku mmotoka ezibikkiddwa ennamba, era baagala bano baanukule ne ku ky’abasirikale abagufudde omugano okwambala obukookolo mu kukola ebikwekweto. #Gambuuze #Ageesigika #BBSKATI