Abasaalimbira ku Ttaka ly’Obwakabaka Baakukolwako, Owek. Bwanika Alabudde Bannakigwanyizi
- ByAdmin --
- Nov 01, 2024 --
Ssaabawolereza w’Obwakabaka bwa Buganda Owek. Christopher Bwanika, alabudde Bannakikwanyizi abasaatuukira ku ttaka ly’Obwakabaka nti bakyagenda mu maaso n’okufiirwa ebintu byabwe byebabeera bakoledde ku ttaka eryo kubanga kkooti ezze abayimiriza. Okwogera bino, Ssaabawolereza n’abakulembeze b’Obwakabaka mu ssaza Ssingo nga bali wamu n’omuwandiisi wa Kkooti enkulu e Kiboga, babadde balambula ettaka erigambibwa nti Nsubuga David ya lyezza.