
Abantu Beeyanzizza Ssaabasajja Kabaka , Batindizze Engendo Okwefunira Obujjanjabi
- ByAdmin --
- Jan 30, 2025 --
Abantu ba Ssaabasajja abavudde ewala nebajja mu lusiisira lw’ebyobulamu olwategekeddwa obwakabaka mu Ssaza Busiro beyanzizza Nnyinimu olw’okubajjanjaba ku bwereere era bagenze okuddayo ewaka nga bali yaddeyaddeko. Bano basabye gavumenti okuteeka eddagala mu malwaliro gaayo kubanga bwebagendayo bakoma ku kubakebera nebabasindika okugula eddagala ate nga tebalina nsimbi