Abalondoola eby’Obufuzi Bakubye Ebituli mu Mukago gwa DP BLOC
- ByAdmin --
- Sep 30, 2024 --
Abatunuulizi b’ensonga z’ebyobufuuzi bakubye ebituli mu bisinde by’ebibiina by’obufuzi ebigunjibwawo buli kiseera byebagambye nti ababitandikawo mpaawo mulamwa gw’amannyi gw’ebabeerako okujjako okubifuula akatego ka ssente okuva mu gavumenti. Bano abalonzi babawadde gaabuwa okuwagira bannabyabufuzi abalina ebibiina byebalowooza nti birina ensonga eziyinza okubatwala mu maaso.