Abalimi ba Vanilla e Kayunga Bakaaba lwa Babbi, Baagala Gavumenti Ebayambe

Ekirime kya Vanilla ky’ekimu ku kirime abatuuze e Kayunga mu Bugerere kwebasibidde olukoba mu kaweefube w’okwegobako nawookera w’obwavu nga bangi bakyettanira okukirima wabula balina ekizibu ky’abakyala kimpadde ababafuukidde ekizibu olw’okunoga nga Vanilla wabwe mu matumbi budde ekibaviirako okufiirizibwa. Abalimi ba Vanilla bagamba nti ekisinga okubabobbya omutwe ababbi Vanilla abanoga muto nebamutunda ku katale ekireetera omutindo n’akatale okugwa nebafiirizibwa. Kino kiwalirizza abakulembeze okuyisa amateeka agalina okugobererwa nga batunda Vanilla mu disitulikiti ye Kayunga yonna.


https://www.youtube.com/watch?v=dAeDN2E3FTc

LEAVE A COMMENT