Abalimi b'Endokwa z'Emmwanyi Baweze Okusaawa Emmwanyi z'Abantu Gavumenti Zeyabagulako n'Etabasasula
- ByAdmin --
- Apr 08, 2024 --
Abalimi b’endokwa z’Emmwanyi baweze okulumba abalimi bebaawa endokwa z’Emmwanyi zabwe okuzitema okulaga obutali bumativu olw’ekitongole ekivunaanyizibwa ku Mmwanyi ki Uganda Coffee Development Authority okulemwa okubasasula newankubadde ng’ensimbi zabwe zaayisibwa palamenti. Bano bagamba bakooye okubanja ensimbi zabwe nga obulamu bwabwe obwongedde okubeera mu matigga olw’okufiirwa nga kati tebamanyi kyakuzzaako.