Abalabirizi Okuva mu Mawanga Agenjawulo Balambudde Ekiggwa Ky'abajulizi e Namugongo
- ByAdmin --
- Feb 23, 2024 --
Abalabirizi abalonde okuva mu mawanga ag’enjawulo bakyaddeko mu kifo ky’abajulizi abakulisitaayo e Namugongo n’ekigendererwa eky’okwongera okumanya ensibuko y’abajulizi abaafiirira eddiini. Bano okukyalako e Namugongo babadde bazze mu lusirika lwabwe olw’okwongera okwefumiitiriza ku ngeri gyebanaatambuzaamu obuweereza ng’olukung’aana luno luyindira Lweza.