Abakulira Eddwaliro lye Naggulu Gabamyuse , Waliwo Ensimbi Ezabulankanyizibwa

Abakulira eddwaliro lya gavumenti e Naggulu kabuze kata batonnyeze amaziga nga balombojja ennaku gyebayitamu okutuusa obujjanjabi eri abantu abettanira eddwaliro lino. Bano abasinzidde mu kakiiko ka Palamenti akalondoola ensaasaanya y’ensimbi y’omuwi w’omusolo aka PAC, bagamba nti gavumenti yabeerabira dda webituuka ku kubawa ebikozesebwa , ekiviiriddeko ababaka abatuula ku kakiiko kano okwambalira gavumenti gyebalumiriza okwejarabya, olwo ebintu ebigasa omuntu waawansi nebatafiiibwako.


https://www.youtube.com/watch?v=idcKzD_kteI

LEAVE A COMMENT