Abakulira Eby’enjigiriza Balabudde Ab’amasomero ku Bisulo by’Abayizi
- ByAdmin --
- Nov 18, 2024 --
Akulira ebyenjigirizza mu disitulikiti ye Luweero, Hajji Kamulegeya Lutakome alabudde abakulira amasomero naddala ag’obwannanyini okubeera abegendereza ennyo nga bateeka ebisulo by’abayizi ku masomero. Okwogera bino abadde ayogerako eri abazadde n’abayizi ku ssomero li Rain Bow e Wobulenzi.