Abakulembeze Balabudde Abasawo B’ekinnansi Okwongera Omutindo ku Mulimu Gwabwe
- ByAdmin --
- Nov 01, 2024 --
Abasawo b'Ekinnansi bakubiriziddwa okusitula ku mutindo gw'Ebifo mwe bakolera bireme okwesittaza abantu ababigendamu, bakubiriziddwa n'Okukomya enjawukana kubanga zibaza mabega. Pulezidenti General w'abasawo b'Ekinnansi mu Ggwanga Nnaalongo Nansamba Mutongole okwogera bino abadde Jinja mu Busoga mu Kigwa kya Bujagali Nabamba gy’asisinkanidde Abaswezi abasobye mu 500.