Abakola mu Birombe bya Zzaabu e Kassanda Basiibye Beeriga ne Poliisi, Bagamba Bakooye Okubatulugunya
- ByAdmin --
- May 10, 2024 --
Abatuuze abakolera emirimu gyabwe mu birombe bya zzaabu e Kasanda bakukkulumidde ebitongole by’ebyokwerinda olw’okubaliisanga akakanja ekituuse okubeetamya omulimu gabwe. Bano bagamba ab’ebyokwerinda bakwatagana n’abagagga nebabagoba gyebakolera emirimu gyabwe ekintu ekibakubye obwavu obutagambika