
Abakinjaagi Beekalakaasizza, Bagamba Abakulembeze Babwe Basusse Okuwambibwa
- ByAdmin --
- Jan 26, 2025 --
Abakinjaaji bekalakaasizza nga bemulugunya olw’abakulembeze babwe abazze bakwatibwa n’okubuzibwawo mu ngeri etategeerekeka kyebagamba nti kibatadde ku bunkenke obutagambika. Bano kati bekubidde enduulu eri omukulembeze w’eggwanga okubayamba nti kubanga kati bannakigwanyizi basusse okwegiriisiza mu katale kaabwe. Bino bibadde mu lufula ya City Abattoir ku Portbell Road wano mu Kampala.