
Abagambibwa Okutta Lwomwa Bagasimbaganye n'omulamuzi ku Kkooti ya Mwanga II e Mengo
- ByAdmin --
- Mar 12, 2024 --
Kkooti ya Mwanga II e Mengo esomedde abantu bataano omusango gw’obutemu era nebasindikka ku alimanda e Luzira okutuusa nga 11 ogw’okuna omwaka guno ku bigambibwa nti beenyigira mukutta eyali omutaka w’ekika ky’endiga Eng Daniel Bbosa Lwomwa. Kino kiddiridde oludda oluwaabi okutegeeza kkooti nti lukyakungaanya obujulizi ku musango guno ate n’engeri kkooti eno gyetalina buyinza kuwulira musango kikula kino gubadde tegusobola kugenda mu maaso.