
Abagambibwa Okubba Ensimbi Z'omuwanika wa NRM Gebakaaba Gebakomba, 12 Bakwatiddwa
- ByAdmin --
- Jan 23, 2024 --
Poliisi erangiridde nti yakakwata abantu 12 ku byekuusa ku kuyingirira amaka g’omuwanika w’ekibiina ki NRM Amb.Barbara Nekesa Oundo nebabbayo ensimbi obuwumbi obusoba mu 2 zeyali yapakira mu bisawo bitaano nebakuulita nazo. Bano okukwatibwa kyaddirira ensimbi zino okubamalako emirembe nebagenda nga bazisuulasuula nokuzigaba mu ngeri yokwejalabya era buli eyazifunako poliisi emuwenja.