Ababaka Beetemyemu ku Nvumbo Eyateekeddwa ku Sipiika, Abamu Tebaakisanyukidde

Ababaka mu Palamenti ya Uganda beetemyemu bibiri ku nvumbo Bungereza gyeyatadde ku Sipiika wa Palamenti Annet Anita Among ku bigambibwa nti alina emivuyo mingi gyeyeetabyemu egy’obuli bw’enguzi omuli n’ensonga z’amabaati g’abawejjere e Karamoja. Abamu ku babaka kino bakiyise kiiso kya mbuzi ekirekerera omussi nekitunuulira omubaazi kubanga bangi abali emabega w’emivuyo gy’enguzi balekeddwa ebbali Abamu ku banna Uganda bawagidde envumbo ku Anita Among, Agnes Nandutu, ne Mary Goreth Kitutu nga bagamba nti kyakuyambako mukukomya obuli bw’enguzi n’okunyaga ensimbi za gavumenti.


https://www.youtube.com/watch?v=CHDAL658LYA

LEAVE A COMMENT