
Ababaka Bawabudde ku Nsaasaanya y’Ensimbi, Bwezitakwatibwa Bulungi Kyandiserebya Ebyenfuna
- ByAdmin --
- Jul 02, 2025 --
Ababaka ba Palamenti nga bakulembeddwamu ssentebe w’akakiiko ka COSASE, Medard Lubega Ssegona bawabudde ebitongole bya gavumenti okukozesa obulungi ensimbi y’omuwi w’omusolo zireme kusibira mu mikono gy’abalyake nga bwebizze birabikira mu alipoota za ssaababalirizi wa gavumenti. Bino webiggyidde ng’olunaku olwaleero eggwanga litandise omwaka gw’ebyensimbi 2025/26 ng’eno ya buse 72 n’omusobyo.