Ababaka Abava Mu Buganda Balangiridde Enteekateeka Empya
- ByAdmin --
- Jan 30, 2024 --
Ababaka abava mu kabondo ka Buganda balangiridde enteekateeka gyebatuumye “Ekyoto ky’Ababaka” nga wano bagenda kutalaaga ebitundu gyebakiikirira nga bagonjoola n’okwogera ku nsonga ezinyigiriza abantu mu bitundu bino.Bano era bagugumbudde abalaalo abagufudde omuze okwesenza ku ttaka ly’abantu ku mpaka naddala wano mu Buganda.