
Ababaka Abaakwatibwa Bazziddwayo e Luzira, Bakomawo nga 18 Omwezi Guno
- ByAdmin --
- Jul 10, 2024 --
Omulamuzi wa kkooti ewulira emisango gy’abalyake n’abakenuzi mu Kampala, Joan Aciro ataddewo olwa nga 18 omwezi guno oludda lwa Gavumenti werusuubirwa okuteekamu okwanukula kwalwo ku kusaba kw’ababaka ba Palamenti abavunaanibwa emisango gy’obukenuzi. Ababaka basatu okuli Paul Akamba, Micheal Mawanda ne Mudimi Wamakuyu bavunaanibwa emisango gy’obulyake nga kigambibwa nti beekobaana nebeegabanya ensimbi ezaali ez’ebibiina by’obwegassi ng’akadde konna basuubirwa okusindikibwa mu kkooti enkulu bewozeeko.