Abaana 60 Bebabatiziddwa ku Lutikko e Lubaga, Waliwo Abafumbo Abamaze Emyaka 18 nga Tebalina Zzadde
- ByAdmin --
- Apr 02, 2024 --
Abaana 60 bebabatiziddwa ku lutikko e Lubaga okubayingiza mu kisibo kya Yezu Kristu. Muno mulimu n’abafumbo abamaze emyaka 18 nga banoonya ezadde, era olwalifunye banguye okujja okwebaza n’okubatiza ezzadde lino. Fr. John Mary Walugembe awabudde abazadde bakomye okuyigiriza abaana omuze gw’okulimba.