
Abaami ba Kabaka bebazizza Katonda olw'Obuweereza n'Emirimu gy'Abakozesa
- ByAdmin --
- Feb 16, 2025 --
Omwami wa Kabaka atwala eggombolola ya Mutuba mukaaga mukulu wa kibuga, Mengo – Lubaga, Mukasa Bakanoga Samuel asabye abantu ba Beene okukola n’amaanyi ate beewale ebyo ebiswaza obwakabaka. Ono bino abyogeredde ku eklezia ya Our Lady Of Mt. Carmel e Busega mu kitambiro ky’emmisa ekikulembeddwamu Rev Father Micheal Kasita.