Abaali Abakozi ba Coffee Marketing Board Balaajana, Gavumenti Ekyalemereddwa Okubasasula

Abaaliko abakozi ba Uganda Coffee Marketing Board n’okutuusa kati bakyasobeddwa eky’okuzzaako olwa gavumenti obutabawa kasiimo kabwe kebakabanjiza kati emyaka 30 bukya basalibwa ku mirimu gy’ekitongole kino ekyaggalibwawo. Bano ababadde balojja ennaku nga n’ebiyengeyenge bijja, bagamba nti abasinga ku bannaabwe abasukka mu 250 baafa tebafunye nsimbi zaabwe nga n’abalala bali ku ndiri awatali ssente za bujjanjabi, bagala abakulembeze ku mitendera egyenjawulo bayingire mu nsonga zaabwe.


https://youtu.be/YNW18at8ZAM?si=6B4PLxXzfly7aTpG

LEAVE A COMMENT