
Aba ‘UNOC’ Entuuyo Bazisazizza Bibatu, Balemeddwa Okulaga Ensaasaanya y’Ensimbi
- ByAdmin --
- May 28, 2024 --
Abakulu abaddukanya kampuni ya gavumenti ey’amafuta eya Uganda National Oil Company (UNOC) bagobeddwa mu kakiiko ka Palamenti akalondoola ku nsaasaanya y’ensimbi w’omuwi w’omusolo ,oluvanyuma lw’okulemererwa okunyonnyola enkozesa y’ensimbi ezaali zibaweereddwa ku by’okuzimba omudumu gw’amafuta. Akakiiko kakizudde nti ezimu ku nsimbi ezaweebwa UNOC, abaddukanya kampuni eno baatuuka n’okuzozesaamu ekitabudde ababaka abatuula ku kakiiko kano.