Aba Uganda Aids Commission Beeyanzizza Ssaabasajja Olw’omulimu Gw’okulwanyisa Mukenenya
- ByAdmin --
- May 24, 2024 --
Ababaka abatuula ku kakiiko ka palamenti aka COSASE saako ekitongole ekikulembeddemu eddimu lw’okulwanyisa akawuka akaleeta mukenenya batenderezza Ssaabasajja Kabaka olw’okufuuka omumuli mu kulwanyisa ekirwadde kino ekikaabya bannayuganda akayirigombe. Bano bagamba nti bukyanga Ssaabasajja Kabaka awoma omutwe mu nteekateeka zino ekirwadde kino kyongedde okukendeera mu ggwanga. Bano bino babyogeredde mu palamenti bwebabadde balabiseeko mu kakiiko ka palamenti akalondoola entambuza y’emirimu mu bitongole bya gavumenti ka COSASE