Aba Uganda Aids Commission Beeyanzizza Ssaabasajja, Atadde Amaanyi mu Kulwanyisa Mukenenya
- ByAdmin --
- Sep 26, 2024 --
Akakiiko ka gavumenti akalwanyisa akawuka ka mukenenya aka Uganda AIDS Commission kasse omukago n’abakulembeze b’Ennono mu ggwanga okubakwasizaako mu kulwanyisa akawuka akaleeta mukenya. Abakulu mu kakiiko kano bagamba nti eddoboozi n’amanyi g’abakulembeze b’Ennono bya nkizo nnyo eri abantu era bigenda kubayambako nnyo okulwanyisa akawuka mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo. Beebazizza Ssaabasajja olw’eddoboozi lye eriyambye ennyo okukendeeza okusaasaana kw’akawuka. Kinajjukirwa nti Beene yakwasibwa Omumuli ab’ekitongole ki UNAIDS okukulemberamu okulwanyisa okusaasaana kw’akawuka ka Mukenenya.