
Aba Rotaract Club Badduukiridde Abawala n’Ebisabika by’Abakyala
- ByAdmin --
- Mar 12, 2025 --
Banna Rotaract Club ye Muyenga Tankhill nga bakulembeddwamu Pulezidenti wabwe omulonde, Kenneth Rubango badduukiridde abakyala n'abaana b'amasomero n’ebisabika byebakozesa mu mbeera zaabwe ez’obutonde wamu n’obubujjanjabi obw’enjawulo. Enteekateeka eno ebadde ku ddwaliro li Akugoba Health Center III mu zooni ya Kakungulu e Kawempe.