Aba Ortodox Bakuzizza Amazuukira g'Omulokozi
- ByAdmin --
- May 06, 2024 --
Ssaabalabirizi w’aba Orthodox, Metropolitan Jeronymos Muzeeyi yeekokkodde entalo ezeyongedde mu mawanga naddala agalimu enzikiriza eno ekiviiriddeko abagoberezi babwe bangi okufa. Bannabyabufuzi mu nzikiriza eno basabye abakulembeze babwe okulabira ku eyali Ssaabalabirizi w’aba Orthodox, omugenzi Yonah Lwanga eyavangayo mu lwatu n’ayatulira abakulembeze ku bitatambula bulungi mu ggwanga