
Aba Orthodox Basabidde Ssaabasajja Kabaka, Beeyanzizza Omuteregga Olw’enkolagana Ennungi
- ByAdmin --
- Jul 29, 2024 --
Ssaabalabirizi w’Ekkanisa y'aba Orthodox mu ggwanga Metropolitan Jeronymos Muzeeyi atenderezza nnyo omulimu amakula ogwakolebwa Obwakabaka bwa Buganda mu kutandikibwawo kw’enzikiriza y'aba Orthodox wano mu ggwanga n’okwetoloola amawanga amalala ku lukalu lw’omwana w’omuddugavu. Ssaabalabirizi agamba nti emyaka 31 egya Ssaabasajja kabaka ng’atudde ku Namulondo bagyenyumirizaamu ng’aba Orthodox olw’obumu Ssaabasajja bw'aleese mu bantu be.