
Aba NEED Bavuddemu Omwasi ku Misolo Emipya Gavumenti Gy'ebinika Abasuubuzi
- ByAdmin --
- Apr 08, 2024 --
Bannakibiina ki National Economic Empowerment Dialogue NEED, bavumiridde enteekateeka ya gavumenti okwongeza omusolo ku bintu ebikosezebwa mu bulamu obwa bulijjo mu mbalirira y’Omwaka gw’ebyensimbi ogwa 2024-2025. Bannakibiina kino bagamba kyennyamiza nnyo okulaba nga musolo omuyitirivu ogukung’aanyizibwa teguganyuddwamu banna Uganda era bawagidde eky’abasuubuzi okuteeka ebikola wansi okuwakanya emisolo gino egyakawereege.