Aba KACITA Uganda Bakungubagidde Omutaka Lwomwa
- ByAdmin --
- Feb 27, 2024 --
Abasuubuzi abeegattira mu kibiina ekibataba ki KACITA Uganda baagala ekitongole ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango kyanguyirizeeko mu kunoonyereza n’okufulumya alipoota ekwata kubutemu obwakoleddwa ku musuubuzi munnaabwe era abadde Omutaka w’Ekika ky’Endiga Lwomwa Daniel Bbosa. Okusinziira ku mwogezi w’ekibiina ekitwala abasuubuzi mu ggwanga ki KACITA Uganda Hajji Isa Ssekitto, Eng. Daniel Bbosa y’omu ku babadde emabega w’okulwanirira abasuubuzi era tewali kibadde kisalibwawo mu KACITA Uganda nga teyebuuziddwako era okuttibwa kwe kwabakubye wala ng’abasuubuzi.