Aba Hudah Spring Primary School Balaze Ebyava mu Bigezo, Abayizi Babwe Baayita Bulungi
- ByAdmin --
- Feb 01, 2024 --
Ssentebe w’emipiira gy’Amasaza, Hajji Sulaiman Ssejjengo asabye abazadde okukwatagana n’abasomesa okuyamba ku baana babwe okuyita obulunji bafunire eddagala ebibasomooza. Ono okwogera bino abadde ku ssomero lya Hudah Spring Primary School e Ndejje mu kukwasa abayizi ebyava mu bigezo era abaayita obulungi baweereddwa ebirabo.