Aba FDC Baleese Muwala we Cecilia Ogwal Amuddire mu Bigere e Dokolo

Bannakibiina ki Forum for Democratic Change - FDC e Najjanankumbi baleese Dr. Rosemary Olwac muwala w'omugezi Cecilia Ogwal amuddire mu bigere mu kulonda okw’okujjuza ekifo ky’omubaka omukyala owa disitulikiti ye Dokolo. Pulezidenti w'ekibiina kino asabye akakiiko k'ebyokulonda okutegeka akalulu k'amazima n'obwenkanya kyokka n’asaba ab’oludda oluvuganya omuli NUP n’ebibiina ebirala okuwagira omuntu wabwe. Bino bibadde ku kitebe kya FDC e Najjanankumbi.


https://www.youtube.com/watch?v=24YtfoD4oiI

LEAVE A COMMENT