
Aba Bbooda bali mu Kattu, Siteegi Zaabwe Zigenda Kuggalwawo
- ByAdmin --
- Feb 22, 2024 --
Wabaluseewo okutya mu bagoba ba Bbooda oluvanyuma lw’ekitongole ekiddukanya ekibuga Kampala ki Kampala Captal City Authority olw’okulangirira nti waliwo siteegi za Bbooda Bbooda eziwera 1500 ezigenda okuggyibwa mu kibuga. Wabula Ssentebe w’abagoba ba Bbooda Bbooda mu Kampala Frank Mawejje agumizza aba bbooda bbooda nti tewali agenda kubagoba mu kibuga kubanga KCCA okuyisa ebiragiro nga bino erina kusooka kubeebuuzaako kyetannaba kukola.