Aba ADF Beesomye Okukola Okukuba Uganda Awabi, UPDF Ekoze Okulabula
- ByAdmin --
- Mar 19, 2024 --
Bannayuganda balabuddwa okubeera obulindaala ku bantu bebatategeera mu bitundu byabwe kubanga bakitegeddeko nti abatujju okuva mu kabinja ka ADF beesomye okukuba Uganda awaluma naddala mu bifo eby’olukale omuli abantu abangi. Okulabula kuno kukoleddwa omumyuka w’Omwogezi w’amagye Lt. Col Deo Akiiki bwabadde ku ssengejjero ly’amawulire wano mu Kampala