Ab’olulyo Olulangira Basisinkanye, Basabiddwa Okukuuma Ennono n’Okutumbula Eby’obulambuzi mu Buganda
- ByAdmin --
- May 21, 2024 --
Mu kaweefube w’okunnyikiza obuwangwa n’ennono, Abavubuka b’Olulyo Olulangira nga bayita mu kibiina ki Olulyo Olulangira Youth Network basisinkanye okwongera okutema empenda ku ngeri gyebayinza okwongera okukunga bannaabwe okumanya ebibakwatako. Bano balonze olukiiko oluggya olugenda okubakulembera era nga byerutunuulidde y’enkulaakulana n’okumanya ensibuko yaabwe