
Ab’oluganda Babiri Bafiiridde mu Kinnya
- ByAdmin --
- Jan 29, 2024 --
Abatuuze ku kyalo Kannyanda mu ggombolola ye Makulubita mu disitulikiti ye Luwero baguddemu ekikangabwa olw'aboluganda babiri okugwa mu kinnya kya kabuyonjo nebafiirawo nga bano babadde bamaze ennaku eziwera nga babuze. Ab'oluganda lw'abafudde basabye Poliisi okukwata era eggalire nnannyini kinnya kino bafune ebwenkanya.