
Ab’oludda Oluvuganya Basisinkanye, Balangiridde Olutalo ku Bulibwenguzi
- ByAdmin --
- Mar 11, 2025 --
Ababaka abali ku ludda oluvuganya gavumenti mu Palamenti bagamba ku mulundi guno bagenda kulwana okulaba nga tebakoma ku kulwanyisa buli bwanguzi wabula bagenda kuteeka akazito ku gavumenti okuzza ensimbi eziba zibulankanyiziddwa. Bano babadde mu musomo gwebategese olwaleero ku Palamenti mwebaleetedde ebirowoozo ku ngeri ki gyebalina okulwanyisa obuli bwenguzi wakati mu kwetegekera omwaka gw’ebyensimbi ogujja 2025/2026.