
17 Bagguddwako gwa Butujju , Kigambibwa nti Baatema Emiti gy’Amasannyalaze
- ByAdmin --
- Jul 03, 2025 --
Omulamuzi wa kkooti esookerwako e Nakawa, Andrew Katurubuki asindise abantu 17 okuli n’omuserikale wa Poliisi ku alimanda e Luzira olw’ebigambibwa okuba nti benyigira mu kutema emiti gy’amasannyalaze. Bano baakukomawo mu kooti ngennaku zomwezi 17 omwezi guno.