rnrnrnrnrn
You are here
Home > HEADLines > Wummula Mirembe!: Lawrence Mukiibi Aziikiddwa E Katende

Wummula Mirembe!: Lawrence Mukiibi Aziikiddwa E Katende

\r\r\r\r

Ku ssawa nga mukaaga n’ekitundu omulambo Prof. Lawrence Mukiibi, guggyiddwa mu nyumba gyegubadde gwaterekeddwa mu maka ge nga guwerekeddwa Band ebadde ekubwa abamu ku bayizi okuva mumasomero ge.

Omukolo gutandise n’amiisa ekulembeddwa Musinyoli Wayinadi Katende nga ayambibwako bannaddini abalala.

Okuziika kuno kwetabiddwako abakungu okuva mu Gavumenti eya wakati abakulembeddwa amyuka omukulembeze w’eggwanga Eddward Kiwanuka Ssekandi , Ssabawandisi w’ekibina kya NRM Justine Kasule Lumumba , minister ow’ebyenjigiriza Owek John Cristom Muyingo sako ababaka ba Palamenti n’abakulembeze okuva mu bwa Kabaka bwa Buganda.

Bw’abadde ayogerako eri abantu abetabye ku mukolo guno, Musinyoli Wayinadi Katende asabye abantu okunywerera ennyo ku Katonda sako n’okuyitiriza ennyo essala eri abantu ababa bavudde mu bulamu bw’ensi eno .

Ono era avumiridde ebikolwa by’okuziika abantu ate mu ntaana zaabwe nebateekayo ebintu ebivvoola ng’ensimbi n’omwenge. wabula nga mu ntana zabwe waliyo ebitekeddwayo.

Mulekwa omukulu Justine Tulina, nga ono yayogedde kulw’abaana b’omugenzi ategezzeza nga bwebagenda okusigala nga bagumu okulaba nga batwala obuvunanyizibwa bwa Kitabwe bw’abalekedde.

Bo abantu abenjawulo batenderezza nnyo emirimu omugenzi Prof. Lawrence Mukiibi gyalese akoze. Oluvanyuma abantu abenjawulo bawereddwa omukisa okuganzika ebimuli ku mulambo gw’omugenzi.

N’oluvanyuma ng’okusaba kuwedde Pulof. Lawrence Mukiibi ateekeddwa mu nyumba ye ey’oluberera . Mukiibi alese abaana abawera wamu n’abazzukulu ng’era afiiridde ku myaka 67.

\r\r\r\r

Leave a Reply

Top