rnrnrnrnrn
You are here
Home > HEADLines > Uganda Development Bank Eduukiride Abana Ba Angels Children’s Centre Nansana

Uganda Development Bank Eduukiride Abana Ba Angels Children’s Centre Nansana

\r\r\r\r

Bank ye Uganda ey’ebyenkuulakuulana (Uganda Development Bank) etonnede ebintu eby’enjawuulo eri abaana abalina obulemu kumubiiri wali ku Angels Children’s Centre – Nansana nga muno mubaddemu ensawo za seminti nebilala.

Kino kigyide mu kiseera nga ekiffo kya baana kino kiri mu kaweefube ow’okuzimba ekiffo kya baana abalina obulemu ku mubiiri nga omulamwa guvvuze nti “Zimba Naffe”.

Akulira eby’enpuliziganya mu kitongole ki Uganda Development Bank Clinton Mawanda agamba nti abaana bano abaliina obulemu ku mubiri ebiseera ebisinga baboolebwa.

Wano wasabidde ebitongole eby’enjawuulo okuteka nga mumbalirira eky’okuyamba nga  abantu abekika kino.

Akulira Angels Children’s Centre Rosemary Nambooze ye agamba nti ekigendererwa kyabwe kwekulaba nga abaana bano abalina obulemu kumubiiri bazuula ebitone byabwe .

Nambooze okwenyigira mu mulimu guno kyava kukubonabona kweyayiitamu oluvanyuma lw’okuzaala omwana aliko obulemu ku mubiiri.

Omulimu gwo kulabirira abaana abalina obulemu kumubiiri simwangu era nga gwabeyii nyo eri oyo abeera agukwasaganya.

\r\r\r\r

Leave a Reply

Top