rnrnrnrnrn
You are here
Home > EBY'EMIZANYO > Ttiimu Ya KCCA FC Eri Bulindara Okuttunka Ne Club Africaine

Ttiimu Ya KCCA FC Eri Bulindara Okuttunka Ne Club Africaine

\r\r\r\r

Oluvanyuma lw’okutikkirwa ku bwanantamegwa bwa liigi y’eggwanga ku lw’omukaaga, ttiimu ya KCCA FC yakwolekeza obwanga Club Africain okuva mu ggwanga lya Tunisia mu mpaka za CAF Confederations cup

Omupiira guno gwakuzanyibwa ku makagga KCCA FC aga phillip Omondi stadium olunaku lw’enkya kusaawa 10 era nga ttiimu ya Club Africain yatuse dda mugwana

Omutendesi wa KCCA FC, Mike Mutebi agamba nti, ttiimu ye yetegese bulungi okwangaanga Club Africain.

Wabula bwetwogeddeko n’Omutendesi wa Club Africaine Kihibi Eriri, ategezezza nga nabo bwebazze nga betegese.

KCCA FC ejja mupiira guno ng’erina ebiwundu oluvanyuma lw’okuwuttulwa Fus Rabat eya Morocco ggoolo 3 – 0 mu mupiira gwayo ogwasoka

Wabula KCCA era tegenda kubeera na muzanyi wayo gweyakansa mu Express FC, Saddam Juma.

 

KCCA FC eri mu kibinja A, omuli ttiimu nga Fus Rabat eye Morocco, Club Africain okuva e Tunisia sako ne Rivers United eye Nigeria

\r\r\r\r

Leave a Reply

Top