rnrnrnrnrn
You are here
Home > Posts tagged "news in uganda"

Okusabira Owek. Mayanja Nkangi

Nnamungi w'omuntu eyeyiye mu lutikko e Namirembe okusabira Owek. Mayanja Nkangi #BBSMumawulire : Nnamungi w'omuntu eyeyiye mu lutikko e Namirembe okusabira Owek. Mayanja Nkangi https://t.co/nJH23X0YDz pic.twitter.com/cBAn9rzPgg— BBS TEREFAYINA (@bbstvug) March 8, 2017

EBITUNDU N’ABANTU – Kanyanya

Leero mu katundu kaffe ebitundu n'abantu tukuleetedde ekitundu ekimanyiddwa nga Kanyanya wano ku lw’e Gayaza ekimu Ku bitundu abatuuze gyebatalima kambugu na poliisi olw’engeri gy’ekolamu emirimu gyayo mu kitundu. Eno tusanzeyo n'omwana ow'emyaka ekumi n'etano agambibwa okukubwa poliisi n’agongobala era kati aliko obulemu obutamusobozesa kubaako nakyeyeekolera. Kuno bagattako obwavu obubasekenya n'obucaafu obuli

ENKAAYANA KU TTAKA E AGAGO

Obukenke mu disitulikiti ye Agago obwandiviirako abatuuze okulwanagana n'abakaramoja, nga obuzibu buva ku ba Karamoja okutandika okwesenza ku ttaka lya ab'Acholi. Aba Karamoja kigambibwa batandise okusanyaawo n'okunyagulula emmere y’abatuuze ba Agago era nga gavumenti bwebatesutikeddewo bunambiro embeera eno yandirako abatuzze okwekyaawa ne batwalira amateeka mungalo. Bya Juma Kiirya (@jumakiirya) jukirya.blogspot.ug/ Looking for old documents

EBINYUMU N’OBUYIIYA

Enkola nnyingi bajjajja ffe mwebayitanga okutuusa obubaka obwokubuliriria,okuyigiriza n’ebirala okuva ku migigi egimu okudda ku mirala Nga muno mwemuli obuzannyo, engero ennyimba nebirala bingi.\r\nEnsi bwegenze ekyuuka n’okuyiiya nekwoyongera okusobola okutuukana ne tekinologiya owomulembe mu bintu ebiyiyizibwa naddala mu mizannyo egyoku leediyo\r\n

AMAZINA MU MBALU

Abantu be ggwanga lya Bagisu olunaku olwaleero batongozza emikolo gy’okusala embalu egy’omwaka guno ng’obumu ku bulombolombo obukolebwa mu Buwangwa bwabwe.\r\n\r\nMu bimu ku bikolebwa mu mukolo guno gemazina ag’enjawulo agazinibwa okusanyusa abantu.\r\n\r\nGano gazinibwa abawala n’abalenzi abanekanekanye mu byambalo byobuwangwa bwabwe.\r\n\r\nKatutunulire amazina gano n’egeri gyegazinibwamu n’ekigendererwa kyago.\r\n

OKUSALA EMBALU

Abantu okuva Ebule n’Ebweya olunaku olwaleero beyiye mu  kibangirizi kya Mitoma grounds e Mbale okujaguza nga bwegyiweze emyaka bibiri bukya Bagisu batandika enkola y’okusala embalu mu buwangwa bwabwe.\r\n\r\nAbantu abawerera ddala mukaaga beebasaliddwa Embalu wakati mu mizira n’enduulu okuva mu bantu abakunganye okuva mu bungi.\r\n\r\nRobert Nestrooy Kayongo abadde Mbale era katulabe

OLUMBE LWA SSEBUGGWAWO

Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye okulabikako eri Obuganda ku mukolo ogw’okulaga omusika w’omugenzi omutaka Nelson Edmond ssebuggwawo ku mutala Nkumba.\r\nKatikkiro Charles Peter Mayiga agambye nti kikyamu okulaga omusika ng’abantu baakava e magombe.\r\n\r\n

Top