rnrnrnrnrn
You are here
Home > Posts tagged "Buganda"

NAADS: Obukiiko Obunaatuusa Ensimbi Mu Byalo Buteereddwawo

Gavumenti ya Uganda etaddewo obukiiko obwenjjawulo mweggenda okuyiisa ensimbi ezigenda okwongera okuyamba abantu ku byalo wakati mu kwongera okubulula bantu okuva mu bwavu. Kino kikoleddwa okwongera okukendeeza ku bibadde biyisingaana nti enkola eno eya Naads yafuuka yabantu balondemu era nga batono abajjiganyuddwamu. Ssenkulu we kitongole kino Samuel Mugasi ayongedde okutunyonyola engeri abantu

Ebidduka Mu Kulamaga: Poliisi Erambuludde Enteekateeka Enaagobererwa

Embeera ku biggwa bya bajulizi e Namugongo yeyongeddemu amaanyi ng’abalamazi bongedde okutuuka okuva mu bitundu ebyenjawulo ngabasinga batambuza bigere okutuuka mu kifo kino. Mu kiseera kino emmotoka mu bitundu ebimu zitandiise okusimba olwa kasota era nga zigenda kasoobo awamu….olw’abalamazi okuba nga nabo bakozesa ekkubo lye limu. Omuduumizi wa Poliisi y’ebidduka mu Kampala

Lukwago Yeegasse Ku Musisi Balwanyise Kamya

Loodi Meeya wa Kampala Salongo Erias Lukwago ayise olutuula lwa KCCA olwenjawulo okutunula mu buttakkaanya obubaluseewo wakati wa Minsita wa Kampala Beti Kamya n’akulira abakozi mu KCCA, Jenifer Ssemakula Musisi . Bino biva ku tteeka lyeyaleese mu palamenti nga meeya agamba nti meeya asusse okulinnyirira abakulembeze  abalala mu Kampala

Abantu Abasoba Mu 300 Bafunye Obujjanjabi Mu Lusiisira Lw’ebyobulamu

Abantu abasoba mu 300 bafunye obujjanjabi mu lusiisira lw’ebyobulamu olutegekeddwa omukubiriza w’olukiiko lw’abavubuka mu bwakabaka bwa Buganda Allan Ssebunya Mayanja Ku mukolo gwegumu kutegekedwaako n’omupiira era nga ebyalo ebyenjawulo bivuganyizza Abantu bekuluumudde okuva ku byalo ebyenjawulo ebyetooloodde e ggombolola y’e Kito esangibwa e Nakaseke okufuna obujjanjabi ku bwereere Mu bujjanjabi obubaweereddwa mubaddemu okukebera

ABALAMAZI OKUVA E KENYA BAKUBYE KKOODI

Kino kye kibinja ky’Abalamazi abavudde e Kenya nga batandika okutambula ku lunaku lw’okusatu era tubasanze Kenya kumpi Mayiro 10, n’ensalo ya Uganda nga batambula okujja okuyingira Uganda. Oluvanyuma batuuse ku nsalo ya Uganda ne Kenya e Busia, era basobodde okulagayo endagamuntu zaabwe nebayingira eggwanga awatali kukaluubirizibwa kwonna. Kyokka eby’okwerinda bibadde gulugulu okulabira

ESSANYU: KABAKA ASIMYE OKULAMBULA SAAZA LYE ERYE SINGO

Abantu ba Kabaka abe Kyankwanzi ne Kiboga mu saaza lye erye Singo batula bufofo anti Beene asimye okubalambula nga 16 ne 17 June. Amasomero agajumbira enteekateeka z’Obwakabaka gali mukwetegeka ng’era bagogola obulago basobole okuyimbira obulungi Nnanyini nsi. Engabo y’empaka zino eya Buganda Royal Arts Shield Festival, yatwalibwa St Paul Mugwanya okuva mu

Top